SSENTEBE w’ekibiina kya NRM mu ggwanga era Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Tibuhaburwa Kaguta Museveni aganye eky’okuddamu okulonda kubyalo 6, Shartis Musherure Kuteesa gyagamba nti tebalonda nagamba nti obudde tewali kuba okusunsula kutandiika leero.
Olwaleero mubasubirwa okusunsulwa akakiiko k’ebyokulonda e Ssembabule kuliko Minisita w’ebyenguudo Joy Kabatsi ky’Omubaka we Lwemiyaga, Joseph Kitayimbwa Ssekabiito owa Mawogola-West abalala ye Theodore Ssekikuubo, Catherine Nakayiza nabalala.