Abakwata mmundu abakaramoja bakubye ssentebe wa LC III mu gombolola ye Napumpum Paul Lowok amasasi agamuttiddewo nebabulawo.
Ettemu lino libadde mu kimu ku birabo omunyweerwa omwenge mu district ye Kotido.
Ssentebe Lowok abadde omu ku bafuba okulaba ng’emmundu ziggibwa ku bakaramoja, era buli mmundu ekwatibwa yassiddwako omutemwa gwa shs obukadde munaana, okusasula abeera agireese.
Ssentebe Lawoko okuttibwa, abadde aliko emmundu gyabadde alinze emukwasibwe, mu nteekateeka y’okuwaayo emmundu mu mirembe.
Ssentebe wa district ye Kotido Paul Komo Roti , ategeezezza CBS nti obulumbaganyi buno bukoleddwa olwabakambwe okwekengera kwebalina eri abantu abatambula n’abebyokwerinda, nga balowooza bebabalonkoma nti balina emmundu.
Alipoota ya police esembyeeyo mu Karamoja yalaga nti mu bikwekweto ebikoleddwa okuggya emmundu ku bakaramoja, emmundu ezikunukkiriza mu 300 zezaakazuulwa, abantu abali mu 2000 bakwatiddwa ku byekuusa ku mmundu zebalina mu bukyamu, songa abasukka mu 300 basimbiddwa mu Mbuga z’amateeka.