Bambega b’akakiiko akavunanyizibwa kukulwanyisa obuli bw’enguzi mu maka ga President bakutte Ssentebe wa district ye Mpigi Ssejjemba Martin kubyekuusa ku nkozesa enkyaamu ey’ensimbi akawumbi Kamu n’obukadde ebikumi bisatu (shs 1.3b) government zeyaweereza district eyo okukola Enguudo.
Ssentebe Martin Ssejjemba akwatiddwa ekibinja kyabambega 6 nga bano bamukutte kyajje afulume mu kisenge ekiteesezebwaamu enkiiko za district.
Bamuwazeewaze nebamuyingiza mu mmotoka ekika Kya drone nebamwongerayo kukitebe kya police ye Mpigi.
Bwebamutuusizza ku police bamugasse kubanne abalala 3 abasoose okukwatibwa nebabongerayo kukitebe Kya police ya CPS mu Kampala.
Kyokka Ssentebe Martin Ssejjemba agambye nti ebyo byonna byabufuzi nti era bikoleddwa kumutiisatiisa n’okumuggya kumulamwa.
Abasoose okukwaatibwa kubigambibwa nti babadde benyigira mu kutunda emirimu gya government kuliko Ssentebe w’akakiiko akagaba emirimu mu district ye Mpigi Kirumira Fredrick, omuwandiisi w’akakiiko ako Nakamoga Sarah n’omukulu w’essomero lya primary erya government atanategeerekeka mannya, era bonna balindiridde kutwalibwa mu kooti.
Bisakiddwa: Patrick Sserugo












