Ssenkulu wa CBS Omukungu Michael Kawooya Mwebe asisinkanye abayizi okuva mu ggwanga lya Norway, abazze okulambula n’okusoma ku Project za CBS Pewosa NGO ezivujirirwa ekitongole ki Stromme Foundation.
Omukungu Kawooya Mwebe ategezeezza nti enkolagana ya CBS ne Stromme Foundation evuddemu ebibala bingi ebiganyudde abantu mu Buganda.

Yebazizza ekitongole kino olw’okubakwasizaako okukyuusa embeera z’abantu okusingira ddala mu masoso g’ebyalo.

Akulira ekibiina kya CBS Pewosa NGO, Florence Luwedde ategeezeezza nti abayizi bano basoma ebikwata kumbeera z’abantu era bakulambuzibwa Project zonna ezivujilirwa Stromme Foundation.

Okuyita mu nteekateeka ya Stromme Foundation amasomero gazimbiddwa , abantu batandiiseewo emirimu naddala egibaggya mu bwavu.
Abayizi bano okuva mu Lundaim Forkschool mu Norway, bwebamaliriza okulambula project za CBS Pewosa, bakulambula project endala ezivujirirwa Stromme Foundation mu bukiikakkono bwa Uganda ne South Sudan.#













