Obwakabaka bwa Buganda nga buyita mu kitongole kyabwo eky’amateeka ki Buganda Royal Law Chambers bweyamye okukolagana nÓmukago ogutaba bannamateeka abaakamaliriza emisomo ekya Uganda Young Lawyers Network , okutuusa obuweereza eri abantu ba Kabaka abali mu bwetaavu, naddala abatulugunyizibwa ku Ttaka nénsonga endala.
Ssaabawolereza wÓbwakabaka Owek Christopher Bwanika, yayanjudde enteekateeka eno bwabadde asisinkanye bannamateeka abakiise embuga ku mukolo ogubadde mu Bulange e Mengo.
Owek Bwanika ategeezezza nti Abatu ba Ssaabasajja Kabaka bangi bakyetaaga obuweereza bw’okufuna obwenkanya, kyokka nga omuwendo gw’abasobola okubayamba mu nteekateeka eno gubadde gukyaali mutono ddala.
Owek Bwanika mungeri yeemu asabye abaweereza mu mukago ogutaba bannamateeka abato, okubeera abesimbu mu nkola yÉmirimu, obutalulunkanira nsimbi nÓkukozesa obujulizi obujingirire, basobole okuweereze Ssaabasajja nÁbantube obulungi.
President wa bannamateeka abato mu Uganda Tony Tumukunde, yebazizza Obwakabaka bwa Buganda olwÓkuwa omukisa bannamateeka okuweerereza mu biti ebyenjawulo, era nasuubiza okutuusa obuweereza obutaliimu bukuusa.
Omwogezi wa bannamateeka abato mu Uganda Arthur Sserubiri Baliruno, agambye nti betegefu okwongera okusomesebwa n’okuyiga ensonga ez’enjawulo, era naasaba Obwakabaka okwongera okuwagira abavubuka mu nsonga ezitali zimu.
Bisakiddwa: Kato Denis