Ssabawandiisi w’ekibiina ekitwala omupiira gw’ebigere mu Africa ekya CAF, Veron Mosengo-Omba, asuddewo alekulidde nategeeza nti ebbanga ly’aweerezza limala, kekadde essira okuliteeka ku mirimu gye egy’obwannanyini.
Veron Mosengo-Omba nzaalwa ya Democratic Republic of Congo, wabula ng’alina n’obutuuze mu Switzerlan.
Okulekulirakwe kugidde mu kaseera nga n’okwemulugunya okuva bawagizi b’omupiira ku myaka gye 66 gyalina kweyongedde, nga gikontana neteeka eriruηηamya nti abakozi ba CAF bonna tebalina kusukka myaka 63 mubuwereza bwabwe.
Okulekulira kwa Mosengo era kutuukidde mukaseera nga waliwo okwemulugunya ku mungeri ekikopo kya AFCON, gyekyagiddwa ku Senegal abaakiwangula nekiweebwa Morocco.
Kino kyaleseewo okukubagana empawa okuva mu bawagizi b’omupiira omuli n’okulumiriza olukiiko olukulembera CAF, nti lw’andiba nga lwaweebwa ekyojamumiro.
Mosengo ono yalondebwa kukifo ky’okubeera Ssabawandiisi wa CAF mu mwezi gw’okusatu omwaka 2021, era ayise mubingi nga negyebuvuddeko abakozi mu CAF bamulumirizaako okubaliisa akakanja.
WAbula okunoonyereza okwakolebwa kwamwejereza emirimu negiddamu okukwajja, okutuusa lwalekulidde.
Kitegerekese nti akulira ebyokutegeka empaka z’omupiira mu CAF Samson Adamu, kati yagenda okugira ng’atambuza office ya Ssabawandiisi okutuusa ekifo lw’ekinajjuzibwa.
Senegal negyebuli eno ekyaganye okuwaayo ekikopo nga bwebalindirira ekiva mukujulira kwaabwe kwebatekayo, nga bawakanya ensala y’okubaggyako ekikopo kya AFCON kyebawangula mulwaatu ate ooluvannyuma CAF nekibaggyako nekiwa Morocco ne goolo 3.
Senegal baagilanga kwekandagga nebava mu kisaawe okumala eddakiika eziwera, oluvannyuma baakomawo nebagenda mu maaso n’omupiira, Morocco nekuba peneti yaayo eyali egiweereddwa wabula negirema okuteeba.
Oluvannyuma Senegal yateeba goolo eyagiwa obuwanguzi, era nekwasibwa ekikopo.#
Bisakiddwa: Ddungu Davis










