Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye Nnaalinnya Lubuga Agnes Nabaloga asimbule abantube mu misinde gyÁmazaalibwage agémyaka 69, egitegekeddwa olunaku lw’enkya nga 07 April,2024.
Ssaabasajja Kabaka asiimye kampuni , bannabyaabufuzi, Amakolero, amasomero , amatendekero agenjawulo nÁbantu kinoomu abawagidde entekateeka zino, era alagidde abantube babukeereze Nkokola mu Lubiri e Mengo badduke, mu kaweefube w’okwefumiitiriza n’okulwanyisa obulwadde bwa siriimu.
Bw’abadde asisinkanye bannamawulire mu Bulange e Mengo, Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abantu bÓmutanda okukuuma ebiseera, ekitiibwa kyÉmisinde gyÁmazaalibwa gÉmpologoma kiveeyo bulungi.
Katikkiro agambye nti nga 21 March,2024 Ssaabasajja Kabaka yagenda e Bulaaya okwongera okwekebejjebwa abasawo be n’okulondoola obujjanjabi bwaliko webutuuse ekyamulemesezza okudda mu budde.
Katikkiro yebazizza Maasomooji okusigala nga munyeenye mu kulwaanyisa Mukenenya munsi yonna, naasaba abalina Mukenenya okunyweerera ku ddagala, naabatamulina okusigala nga bekuuma.
Emisinde gino giwagiddwa Airtel Uganda K2 Telcom, UNAIDs, I&M Bank, Uganda AIDs Commission, CBS fm, BBS Terefayina, Vision group, Daily Monitor, Majestic Brands Nivana, Ministry yébyobulamu nabavujjirizi abalala bangi.
Bisakiddwa: Kato Denis