Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye okulabikako eri Obuganda, mu Nkuuka Bwaguuga etegekeddwa radio ye CBS FM, mu Lubiri e Mengo.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti Omutanda àsiimye okubeerawo mu Nkuuka Bwaguuga amaleko Omwaka 2025 ng’ali n’abantu be, ate abaggulirewo 2026.
Katikkiro agambye nti guno gugenda kubeera omulundi 22 ng’Omuteregga amalako omwaka n’abantu be mu Lubiri, ku mukolo gw’e Nkuuka buli nga 31 December.
Katikkiro akoowoodde abantu ba Buganda bonna okujja mu bungi mu Nkuuka Bwaguuga, nti kubanga guno omukolo gwa ssanyu nnyo gwakwefumiitiriza ku mwaka bwegutambudde ate n’okwetegekera omuggya.
Mu Nkuuka mwemulangirirwa Omuzira mu bazira w’omwaka, okuva mu Ntanda ya Buganda etegekebwa CBS ng’abamegganyi baddamu ebibuuzo ebikwata ku buwangwa bwa Buganda, n’ensonga ezikwata ku mbeera eriwo naddala eya Technology n’rbyafaayo.
Ssaabasajja Kabaka yasiima, Omuzira mu bazira wa buli mwaka okuweebwa ekyapa ky’ettaka.#







