Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye eyali sipiika wa w’Olukiiko lwa Buganda Owek Rotarian Nelson Kawalya, olwokwagala ennyo obwakabakabwe n’Obuganda ate naabuweereza nómutima gwonna.
Owek.Kawalya era yaliko minister wa Buganda ow’ebyobulamu.
Obubakabwe Omuteregga abutisse omulangira David Wasajja, Owek. Kawalya bwabadde addamu okukuba ebirayiro eby’emyaka 50 mu bufumbo obutukuvu ne mukyalawe Annet Naava Kawalya.
David Wasajja ategeezezza nti Ssabasajja Kabaka yali yasiima dda Owek.Kawalya namwebaza olwenkolaye eyemirimu, nti afunamu obugonvu naye yasigala aweereza mungeri eyenjawulo nga omuwi wamagezi eri Nnyinimu ku bintu ebyenjawulo awamu ne Buganda Land Board.
Abafumbo bano baagattibwa nga 14 December,1974, eyali Omulabirizi w’e Namirembe mu biseera ebyo Yokaana Mukasa.
Kululwe nga David Wasajja, agambye nti Kawalya mwesimbu, ayagaliza ate akutte ne kubantu abalala bangi mukubazimba ku bintu bya Buganda.
Omulabirizi eyawumula, Wilberforce Kityo Luwalira yakulembedemu okubulira, n’okubakubisa ebirayiro eby’emyaka 50.
Omulabirizi yebazizza nnyo Annet Kawalya olwebyo byakoze ebisobosezza Owek Kawalya okufuuka naggwano bubuwerezabwe na byonna byakoze.
Omulabirizi Luwalira ng’ayambibwako Omulabirizi Moses Bbanja n’omukyala awamu nabalala okubadde abalabirizi Paul Luzinda, Dustan Bukenya, Dean w’olutikko ye Namirembe nabalala, era asabye abaami okukomya okusiimuulira ku bakyala babwe okubayisa ng’ekitagasa ngate babeera bafuuse mbiriizi zabwe.
Embaga eno yetabyeko Nnaabagereka Sylvia Najjinda, Omulangira Kasimu Nakibinge, banaalinnya Sarah Kagere, Nasolo, abalangira n’abambejja, Ssabaganzi Emmanuel Ssekitoleko, Omutaka Kalibbala owekika kyÉnsenene, Katikkiro eyawumula Owek JB Walusimbi, Gen. Edward Katumba Wamala, Muky. Bishop Kawuma, abaaliko ba minister ba akabaka abawerako, IGG Betty Kamya, Rotarian Ssalongo Mike Ssebalu nabalala bangi.
Bisakiddwa: Kawuma Masembe