Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asaasidde ab’Enju y’Omugenzi Owek Hajji Ibrahim Sseguya abadde omukiise mu lukiiko lwa Buganda olukulu, olw’Okuvibwako omuntu wabwe abadde omuteesa owenjawulo.
Kalalaankoma obubaka bwe abutisse Omumyuka asooka owa Katikkiro Owek Haji Dr Twaha Kawaase Kigongo, mu kuziika Owek Sseguya ku kyalo Vvumba mu ssaza Bulemeezi mu district ye Luweero.
Katikkiro wa Buganda Owek Charles Peter Mayiga naye yetabye mu kisabira omugenzi mu Muzikiti e Kibuli, naatendereza Hajji Sseguya olw’Obukugu obwenjawulo bwabadde ayolesa mu kuteeseza Buganda, era ng’abadde asengejja byayogera.
Jajja w’Obuyisiraamu Omulangira Dr Haji Kasim Nakibinge , agambye nti omugenzi agenda kusigala ng’ajjukirwa olw’Obwesimbunbwabadde nabwo eri Obwakabaka, eddiini y’Obuyisiraamu , ate nga tabadde mukumpanya.#
Bisakiddwa: Kato Denis