Ssaabasajja Kabaka Empologoma ya Buganda Sseggwanga Ronald Muwenda Mutebi II, asiimye emirimu emirungi n’obuweereza bweyali omulabirizi we Namirembe owokuna, kitaffe mu Katonda Samuel Balagadde Ssekkadde, eyavudde mu bulamu bw’ensi, mu kiro ekyakeesa olwa nga 15 October,2024.
Ssaabasajja Kabaka mu bubaka bwatisse omulangira David Kintu Wasajja, agambye nti omugenzi yalina enkolagana nnene n’Obwakabaka, era eyaweereza obutebalira.
Omukulembeze w’eggwanga Gen Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa, mu bubaka bwatisse Ssabaminisita wa Uganda, Robina Nabbanja, agambye nti eggwanga lifiiriddwa omuntu abadde eyeebuzibwako ensonga ezenjawulo, abadde nomukwano era ayagala ensi ye.
President era awaddeyo amabugo ga bukadde bwa shs 30 era ne ssabaminisita naayongerezaako amabugo ga bukadde 5, zaakwasizza maama Allen Ssekadde wakati mu bakungubazi ababadde mu lutikko ya St Paul e Namirembe.
Ku lwa Buganda, Omumyuka asooka owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda, Owek Robert Waggwa Nsibirwa, agambe nti omugenzi abadde muntu ayagala enkulaakulana.
Mu kusooka Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda, The Most Rev Dr Samuel Steven Kazimba Mugalu, akulembeddemu okubuulira, akuutidde abakkiriza okukola ebiraamo okwewala okutaataaganya abantu abasigadde kunsi.
Omulabirizi we Namirembe Moses Banja, asambazze ebibadde byogerwa nti omugenzi yasooka kugwa mu kinaabiro ekyamuviirako okufa.
Abadde omusawo w’omugenzi Prof Sam Lubogo, ategezezza nti omugenzi yafudde ndwadde yaamutima.
Abaana b’omugenzi nga bakulembeddwamu, Witness Nabalende Ssekibaala, batenderezza nnyo obuvumu n’okufaayo kitaabwe kwabadde nakwo okubalabirira n’okubakuza, wadde nga yalina emirimu mingi egy’obuwereza.
Allen Ssekadde, nnamwandu w’omugenzi agambye nti omugenzi abadde muweereza ayagala ennyo amaka nokubulira enjiri, era amutenderezza olokumulabirira okuva lwebagattibwa mu 1972.
Okusaaba kuno kwetabiddwako Nabagereka Sylivia Naginda, abalangira nabambejja, baminister okuva mu government eyawakati ne mubwakabaka bwa Buganda, ba Katikkiro abaawummul, Owek. Joseph Mulwanyammuli Ssemwogerere ne Owek.Dan Muliika.
Omulabirizi Balagadde Ssekkadde yazaalibwa nga 31 January,1944, afiiridde ku gy’obukulu 80.