Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi ll asiimye naatongoza ennyumba z’abantube eza Mirembe Estate Ssentema mu Ssaza Busiro, neyeebaza ekitongole ky’Ettaka ki Buganda Land Board olw’enkolagana gyekitaddewo ne bannamukago aba China Guoji okukulaakulanya abantube.
Ekibuga kya Maasomooji Mirembe Estate Ssentema kirimu ennyumba 116 eziwedde okuzimba.
Ennyumba endala 284 zezisuubirwa okwongera okuzimbwa mu kitundu ekyo, omugatte ziwere ennyumba 400.
Ennyumba zino zitegekeddwa bulungi ku mutindo omulungi, amasannyalaze, amazzi ne kalonda omulala byonna byassibwamu dda.
Abantu abagula ennyumba zino bakkirizibwa okusasula ku kibanja mpola oluvannyuma lw’okusasulako ekitundu ekibeera kikkiriziganyiziddwako.
Mu kusooka Ssaabasajja Kabaka asiimye nateeka omukono mu Kitabo ky’abagenyi, n’alambuzibwa ennyumba 20 ezaasooka okugulibwa mu Mirembe Estate Ssentema.
Beene alagidde abantube okubeera abeerufu mu kusasula ennyumba zino.
Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abantu ba Kabaka mu Ssaza Busiro obutakoowa kuteeka mu nkola biragiro bya Beene olwo bakulaakulane.
Ssentebe wa boodi y’ekitongole Kya Beene eky’ettaka Buganda Land Board Owek Martin Sseremba Kasekende, asabye government okutuusa obuweereza obulungi eri abantu, omuli amazzi n’Obujjanjabi obulungi, n’okusaawo enkola esobozesa okuzimba ennyumba ezeegasa mu ggwanga okumalawo omugotteko mu bitundu.
Omwaami wa Ssaabasajja Kabaka atwaala essaza Busiro Ssebwana Charles Kiburu kisiriiza, yeeyanzizza Beene olw’okusiima abantube batandike okusula obulungi, ekimu ku kikyali ekisomoozo mu ggwanga.
Akolanga akulira abaweereza mu bannamukago ba kampuni ya China Henan Guoji Antonia Cwi, agambye nti enkolagana y’Obwakabaka ne kampuni ya Henan Guoji yeyongedde okunywera.
Omukolo guno makunale gwetabiddwako abataka ba Jjajja ab’Obusolya, Abalangira, Abambejja ,ba Nalinnya, abakungu mu bitongole by’Obwakabaka ,bannaddiini nabantu ba Beene abalala bangi.
Ennyumba zino zigguddwawo ng’emu ku nteekateeka y’okukuza amatikkirwa ga Nnyininsi Ssabasajja Kabaka aga 30.
Bisakiddwa: Kato Denis
Ebifaananyi: MK Musa