Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye n’alambula ku lubiri lwe olusangibwa e Makindye okulaba embeera yaalwo n’ebikolerwako.
Waliwo bannakigwanyizi abagezaako okulusaalimbirako.
Olubiri luno luwezaako obwagaagavu bw’ettaka bwa yiika 11.
Olubiri luno olw’e Makindye wewaali amaka g’obwapresident (State Lodge).
Wetwogerera nga waliwo abeeyita bannannyini ttaka abagezaako okusensera ettaka lya beene erimanyiddwa obulungi nga lyerimu ku bintu bya Buganda ebyakomezebwawo government eyawakati.