Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II akungubagidde Ppaapa Francis, eyava mu bulamu bw’ensi ku Easter Monday nga 21 April,2025
Obubaka obw’okusaasira Eklezia Katolika, Beene abuweerezza Omubaka wa Ppaapa mu Uganda Ssaabasumba Luigi Bianco.
Katikkiro yeyeetisse obubaka bwa Cuucu n’abusoma ku lutikko e Lubaga.
Kalemakansingyo agambye nti Obwakabaka bwa Buganda ne Eklezia Katulika okuva edda n’edda nga bulina obwa sseruganda obutayuuyizibwa, naddala mu kuweereza abantu baabwo mu by’obulamu, eby’enjigiriza n’ebirala.
Omutanda ategeezezza nti bwebaasisinkana e Lubaga, Ppaapa lweyakyalako mu Uganda baayogera ku nsonga ezo enkulu.
Ssaabasajja agambye nti okufa kwa Ppaapa tekwalumye Bakatuliki bokka, wabula n’abantu abalala bonna ab’omwoyo omulungi abazze bagoberera n’okusiima obukulembeze bwe.
Agambye nti omukululo gwe ogw’obuweereza obwobuteebalira n’okwefiiriza birijjukirwa ekiseera kyonna, bwatyo n’asaasira Eklezia n’ensi yonna.
Obubaka buno Kamalabyonna abukwasizza Chancellor w’essaza ekkulu ery’e Kampala Rev Fr. Dr. Pius Male Ssentumbwe abutuuse eri Ssaabasumba Luigi Bianco, Omubaka wa Ppaapa mu Uganda.
Ku lulwe, Katikkiro Charles Peter Mayiga agambye nti Ppaapa Francis abadde omukulembeze ow’ebyokuyigirako enkumu naddala eri abakulembeze abaagala ennyo ebitiibwa.
Agambye nti embeera z’obulamu bwa Ppaapa Francis kyakulabirako kinene nnyo eri abantu bonna.
Katikkiro naye yeegasse ku bantu abalala n’ateeka omukono mu kitabo ky’okukungubagira Ppaapa Francis ekyateereddwa ku lutikko e Lubaga.
Chancellor we Ssaza Kukulu Kampala Rev Pius Male Ssentumbwe yebazizza nnyo obwakabaka olwokuyimiringa ne Ekeleziya mu buli mbeera.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K