Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga alungamizza Obuganda ku bujjanjabi Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II bwafuna e Bulaaya,agambye nti buwa essuubi.
Katikkiro agambye nti Omutanda akyaliyo e Bulaaya ajanjabwa bulungi,era nti n’emirimugye gyonna gitambulira ddala bulungi okwetoloola Buganda n’ensi yonna.
Annyonyodde nti Ssaabasajja yagenda e Bulaaya nga 21 March,2024 ajanjabibwe era ng’abasawo bamulondoola ng’ali kumpi nabo.
Agambye nti n’omulangira Kiweewa Crispin Junju naye ali mu America ku mirimu emitongole egya Kabaka Foundation era Omuteregga Ssaabasajja Kabaka yeyamutumye.
Katikkiro Charles Peter Mayiga era ayanjulidde olukiiko lwa Buganda olutudde mu Bulange e Mengo, engeri emirimu gy’Obwakabaka gyegitambuddemu mu bbanga ery’omwaka omulamba n’ategeeza nti Obwakabaka bwongedde okumanyika n’Okugundiira munsi yonna, nga kino kirabikidde nnyo mu bagenyi abenjawulo abazze bakyala mu Bwakabaka, omuli n’omulangira wa Bungereza Prince Edward eyakyala mu Bulange e Mengo.
Katikkiro alambululidde Olukiiko enkyukakyuka Ssaabasajja Kabaka zeyasiimye zikolebwe mu baamibe ab’Amasaza ,amagombolola, emiruka wamu n’Abatongole, era neyeebaza Abaami ba Ssaabasajja bonna abaawummula ,olw’obuweereza obusuffu eri Obwakabaka.
Ssabawoleraza w’Obwakabaka Owek Christopher Bwanika ng’akiikiriddwa Minister w’Ettaka n’Ebizimbe Owek David FK Mpanga yakulembeddemu okukubisa ebirayiro abaami ab’Amasaza abagya era beeyamye okuweereza Empalabwa awatali kugitiiririra.
Abaami abakubye ebirayiro kubaddeko Mukwenda owe Ssingo Owek Deo Kagimu, Owek Vincent Matovu Ssekiboobo, Owek Sarah Nannono Kaweesi Katambala, Owek Fred Mugabi Kitunzi e Gomba, Owek Andrew Ssempijja Mukasa Luweekula, Owek John Kankaka Muteesa owe Mawogola, Owek Isreal Lubega Maaso Kasujju, Owek Samuel Ssemugooma Mugerere ne Owek Robert Ssonko Kimbugwe e Buluuli.