Ssabasajja Kabaka empologoma ya Buganda Ronald Muwenda Mutebi II, asiimye okulabikako eri Obuganda nga 4 March,23, okuggalawo emipiira gy’amasaza ga Buganda egyómupiira ogwébigere egyómwaka 2022 wakati wa Busiro ne Buddu bannantameggwa ba 2021.
Omupiira mu kisaawe e Wankulukuku.
Mungeri yeemu Ssabasajja era asiimye okuggalawo emipiira gyébika bya Baganda egyómwaka 2022 nga 11 March,23 wakati wÓlugave nga luttunka ne Ndiga mu mupiira ogwébigere, ate Engeye ng’ettunka ne Mamba Gabunga mu mupiira ogwókubaka.
Minister wébyemizannyo mu bwakabaka Owek Henry Moses Ssekabembe Kiberu, abadde mu lukungaana lwa bannamawulire olutudde mu Bulange e Mengo, era nakakasa nti emipiira gyónna gyakutambulira ku mulamwa ogwókulwanyisa mukenenya.
Omuwanguzi mu mpaka z’amasaza wakufuna obukadde 12, owókubiri obukadde 9, owókusatu okubakdde 7 ate owókuna obukadde 5.
Ssentebe wémipiira gy’amasaza Sulaiman Ssejjengo agambye nti okuyingira mu kisaawe abantu bakusasula emitwalo 2 ne mitwalo 5.
Mu mpaka zébika, wakusookawo omupiira ogwókulwanira ekifo ekyókusatu wakati we Kkobe nga battunka ne Ffumbe, ate mupiira ogwókubaka Olugave battunke ne Nnyonyi Enyange.
Abawanguzi mu mipiira gyébika, mupiira ogwébigere wakufuna obukadde 9, owókubiri obukadde 7 owókusatu obukadde 5 ate mu kubaka omuwanguzi wakufuna obukadde 7, owókubiri obukadde 5 ate owókusatu obukadde 3.
Ssentebe wémipiira gyébika, Katambala Al Hajji Magala Sulaiman, agambye nti nga olukiiko oluteesiteesi betegese ekimala okuteekateeka empaka eziggyayo ekitiibwa kyÓbwakabaka.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe