Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye n’alabikako eri Obuganda, n’aggulawo empaka z’omupiira gw’ebika by’abaganda 2023.
Bazzukulu ba Mugema abeddira Enkima bebagguddewo nebazzukulu ba Nsamba abeddira Engabi.
Engabi ewangudde ne goolo 3 – 1 mu mupiira ogw’ebigere.
Mu mupiira ogw’abakazi ogw’okubaka guwanduddwa Nkima ku goolo 43 – 30.
Abazzukulu okuva mu bika ebyenjawulo bazze mu bungi okubugiriza Empologoma mu kisaawe e Wankulukuku.
Ba jajja abataka b’obusolya nabo bazze mu bungi ddala.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga abaddewo ku mupiira guno, wamu ne ssentebe w’abataka abakulu b’obusolya era omutaka w’ekika kye Kkobe Augustine Mutumba.