Government ya NRM erangiridde nti ku bintu byeyasuubiza bannauganda nga etandika ekisanja kya 2021-2025, esobodde okutuukirizako ebitundu 52%, wabula ng’ebisigadde nabyo byatandikibwako.
Okusinzira ku government ebimu ku byesobodde okukola egamba nti ebyobutebenkevu n’obukuumi bwa bannauganda ebikwasizza maanyi okwetoloola eggwanga lyonna, eby’enkulakulana n’ebyenguudo.
Egamba nti egezezaako okukola enguudo era zeyongedde obungi okutuuka ku kilometers 6199 ezikoleddwa obulungi, sso nga kirometers 1900 zezaaliwo nga NRM tenakwata buyinza mu 1986,ate nga 114 km nti zeziri mu mbeera eri wadde waddeko.
Ebirala ebikoleddwa bye byobulamu government egamba nti obuwangaazi bwa bannauganda bweyongeddeko okutuuka ku myaka 68 okuva 48, nga kino kitukiddwako olw’ensimbi ezongeddwa mu byobulamu nokugema okwekikungo okuzze kukolebwa ministry ye byobulamu.
Government etegezeza nti n’amazzi amayonjo geyongedde okutuuka ku bannauganda nga kati ebitundu 91% basobola okunywa amazzi amalungi, sso nga nobuyigirize bweyongedde mu bantu.
Mu mbeera yemu government egambye nti obwavu mu bannauganda bweyongedde okukka wansi okutuka ku bitundu 16.1% olwe enteekateeka ezikoleddwa nga Parish Developement Model ,Emyooga ne nddala ezitereddwawo okubakwatirako okwekulakulanya.
Government ya NRM era ategezeza nti abantu abatasobola kufuna ssente okwebezaawo bakendedde okutuuka ku 33% okuva ku bitundu 69% bwebabadde, sso nga namasanyalaze gebaasubiza okubunyisa ebitundu bye ggwanga, nti wakiri bannauganda ebitundu 50% balina amasanyalaze mu bitundu byabwe.
Mu bikoleddwa ebirala government egamba nti enkola ya bonna basome gyeyateekawo eyongedde ku muwendo gwa bayizi mu masomero okuva ku bukadde 3 okutuuka ku bukadde 8 n’okusoba, wabula obuzibu bukyali ku gamu ku masomero agasaba abayizi ebisale ebitakkirizibwa ekiviirako abamu naddala abawejjere okwesonyiwa ebyokusoma.
Bwabadde afulumya enteekateeka eno mu lukuηaana lwa bannamawulire mu wofiisi ye, Ssabaminister wa Uganda Robina Nabanja ategeza nti balina ebigaanye kwebyo byebasubiza bannauganda nga bikola ebitundu r 14% ,wabula nti bino tebikoleddwa olw’ensiimbi ezitaliiwo.
Ssabaminister era agambye nti bakyalina projects ezikyatambula ziri ku bitundu 34%, era balina essuubi nti zakumalirizibwa ziseewo enkyukakyuka mu ggwanga.’#













