Ssaabalangira Godfrey Musanje Kikulwe atwrekeddwa ku kyalo Kasawo Kitegula mu Ssaza Kyaggwe.
Yava mu Bulamu bw’ensi eno nga 03 February,2026.
Ssaabasajja Kabaka Sseggwanga Musota Ronald Muwenda Mutebi II, asiimye Omulangira Fred Ssande Kateregga (abadde omumyuka wa Ssaabalangira Kikulwe) agire ng’aluŋŋamya Olulyo Olulangira, okutuusa lw’anaalonda Ssaabalangira omuggya.
Obubaka bwo Omutanda busomeddwa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ku mukolo ogwokutereka Ssaabalangira Omubuze ku Kyalo Kasawo Kitegula mu Kyaggwe.
” Ssaabalangira Kikulwe nga bw’aseeredde, Ssaabasajja Kabaka ajja kutuwa Ssaabalangira omuggya gw’anaakwasa omuggo Ssegulirennume. Mu kiseera kino Olulyo Olulangira luluŋŋamizibwa Omulangira Fred Ssande Kateregga abadde omumyuka we okutuusa Ssaabasajja lw’anaatuwa Ssaabalangira omuggya,era ekyo andagidde nkibategeeze” – Katikkiro Mayiga
Katikkiro era agumizza Olulyo Olulangira nti Ssaabasajja Kabaka agenda Kulonda Ssaabalangira mu bbanga eritali lyewala, naasaba okubeera abagumiikiriza nti kubanga Obwa Ssaabalangira tewali ayinza kubwesooka, wabula Empologoma ya Buganda yesiima neeronda.

Katikkiro atenderezza Ssaabalangira Musanje Kikulwe olw’obukulembezebwe obujjudde ebibala n’engeri eya kisajja kikulu gyabadde akolamu emirimu gye.
Ku lwa government eya wakati minister omubeezi ow’amawulire n’ebyempuliziganya Owek. Joyce Nabbosa Ssebugwawo agambye nti Ssaabalangira Kikulwe abadde mwoyo gwa ggwanga,kwekusaba abasigaddewo okumuyigirako.
Akulembeddemu okubuulira mu kitambiro ky’emmisa musomesa Muzungu Simon, asabye abantu okukomya okutulugunya ab’omumaka gaabwe kubanga kisiga ensigo embi mu baana abato.
Omulabirizi wa Central Buganda eyawummula Bishop Jackson Matovu atenderezza Ssabalangira Kikulwe olwokukozesa omulimugwe ogwobusawo najjanjaba abantu naddala abaana abaali abato mu biseera ebyolutalo, nga tebasasudde wadde omunwe gw’ennusu era nga Kati bangi kubbo baafuuka bantu baamugaso eri eggwanga.
Omumyuka wa Ssaabalangira Kateregga Fred Sandy yeebazizza Omubuze olwokulambika kwabadde abawa entakera nti era bagenda kumusubwa nnyo.
Abaana ba Ssaabalangira nga bakulembeddwamu Kayemba Martin beebazizza olwenkolagana ennungi gyebabadde nayo ne kitaabwe, nga kwotadde nabuli abaadduukiridde okuva Omubuze lweyalwala okutuusa lwavudde mu nsi.
Omukolo guno gwetabiddwako ba Katikkiro b’ebika, ba Naalinnya, abalangira n’abambejja, ababaka ba palamenti nga bakulembeddwamu Zzambaali Bulasiyo Mukasa ba minister n’abakungu okuva mu gavumenti ya Kabaka ne gavumenti eya Wakati, abaami ba Masaza naabalala.
Gutusinze ayi Ssaabasajja twakuumye bubi!
Bisakiddwa: Ssekajiija Auguatus












