Ssaabalabirizi w’ekanisa ya Uganda Rt.Rev. Dr.Steven Kazimba Mugalu akuuttidde aba Krisitaayo bonna obutalindanga nnaku nkulu okugenda mu masinzizo, wabula bagettanire bulijjo nti kubanga lye kkubo erinabasobozesa okubeera abawanguzi munsi.
Ssaabalabirizi abadde ku kyalo Kikandwa mu Ggombolola y’eKasawo mu district y’eMukono bw’abadde aggulawo ekaniisa ya St. Mark Kikandwa, ezimbiddwa minister weby’enguudo mu Ggwanga Gen- Katumba Wamala, wamu n’okwebaza mukama obulamu bwamuyisizaamu nga kwogase nookumutaasa abatemu abali bagenda okutwala obulamu bwe.
Mu June wa 2022 ku mukolo ogwategekebwa Gen.Katumba Wamala bweyali yebaza omutonzi okumuwonya abatemu abaamukuba amasasi, ogwali e Kikandwa mu gombolola ye Kasawo, kweyatongoleza okusonda ensimbi n’okutema evvunike ery’okuzimba ekanisa eno ogwakolebwa ssabaminister wa Uganda Robina Nabbanja .
Oluvannyuma lw’omwaka gumu n’emyezi 5, ekanisa ya St Mark Kikandwa ewedde okuzimbibwa era eguddwawo mu butongole Ssaabalabirizi w’ekanisa ya Uganda the Most Rt Rev Dr Steven Kazimba Mugalu.
Ssabalabirizi awerekeddwako omulabirizi w’e Mukono Enos Kitto Kagodo, abalabirizi abalala abenjawulo, abaawule ,ba Canon nga bakulembeddwamu Owek. Canon Dr. Guster Lule Ntakke n’abantu abalala bangi.
Wabaddewo omukolo ogw’okwebaza Katonda olw’ebirungi byakoledde Gen Katumba Wamala mu bulamu bwe, okusaako abaana 95 emikono, ng’omukolo guno gukoleddwa omulabirizi w’Obulabirizi bwe Mukono Bishop Enos Kagodo.
Ssabalabirizi Kazimba era asiimye Katonda olw’okulekawo Gen. Katumba agende mu maaso n’okumuweereza. “Abantu abamu Katonda abaleseewo olw’ekigendererwa naye temukozesezza mukisa ogwo gw’abeera abawadde. Gen. Katumba ogugwe agukozesezza ebirabwako”
.
Ssabalabirizi Kazimba era asabidde bazadde ba Gen. Katumba okuli nnyina Dorothy Wamala ne taata Henry Wamala olw’okuzaala omwana afuuse omukisa eri Uganda n’agamba nti bano wadde baafa, naye ekifaananyi kyabwe kirabikira mu mwana wabwe.
Gen-Katumba Wamala Edward mukwogera kwe kumukolo guno yebazizza mukama olw’okumuwa ekissa n’obuvumu nasobola okuzimba ekkanisa, era neyebaza omutonzi olwokumuwonya abazigu yadde nga muwala we yalugenderamu.
Ssentebe wolukiiko oluteesiteesi oluzimbye ekanisa eno Owek. Canon Dr Guster Lule Ntakke yebaziza omutonzi abasobozesezza okuggusa omulimu ogwabakwasibwa.
Minister wa Buganda avunayizibwa ku by’obulambuzi ,embiri n’amasiro era nga yavunanyizibwa ku by’obuwangwa n’ennono Owek. Rotarian Wamala Anthony nga yakiikiridde Obwakabaka ku mukolo guno, yebaziza omulimu amakula Minister Gen. Katumba Wamala gwakoze mu kitundu kino ekye Kikandwa kyagambye nti guleesewo enkulakulana mu kitundu kino.#