Ssaabaduumizi w’eggye lya Kenya Gen. Francis Omondi Ogolla afiiridde mu kabenje k’ennyonyi Nnamunkaanga akagudde e Kaben Cheptulel ku nsalo ya West Pokot ne Elgero Marakwet munda mu Kenya.
Ennyonyi y’amagye mw’abadde atambulira babaddemu abantu munaana.
President wa Kenya Samuel Ruto bw’abadde abikira bannakenya agambye nti ennyonyi eno Nnamunkanga ebaddemu abantu 11, omwenda bafudde okubadde ne ssaabaduumizi w’eggye ly’eggwanga, ate abantu 2 basimattuse n’ebisago.
Ogolla afiiridde ku myaka 61 egy’obukulu, ng’abadde abuzaayo ennaku ntono okuweza emyaka 40 ng’aweereza eggye , lyeyegattako nga 24 April,1984.