Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye n’aggulawo ekikopo ky’omupiira gw’amasaza 2023, mu kisaawe e Wankulukuku.
Mawokota ekubye bannantameggwa b’omwaka 2022 aba Busiro ku ggoolo 3-1.
Ggoolo za Busiro ziteebeddwa Abubaker Mayanja, Calvin Peter Emayo ne Innocent Kisolo.
Goolo ya Mawokota eteebeddwa Akram Muzanyi so ng’ono era asubiddwa emikisa egiwerako.
Omupiira gwetabyeko abawagizi bangi ddala.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, Omulangira Kassim Nakibinge, omulangira Crispin Junju, Omulangira David Kintu Wassajja, abataka abakulu ab’obusolya, ba minister, abaami ab’amasaza bangi bagwetabyeko.