Ebitongole ebikessi mu mawana ga Africa bikkaanyizza okugabana nókukozesa obukugu obwawamu okulwanyisa abatujju nábayekera ba Allied Democratic Forces (ADF) abasinziira mu Democratic Republic of Congo, okukola obulumbaganyi mu mawanga ga Africa agenjawulo..
Mu nsisinkano yábakulira ebitongole ebikessi mu Africa olutudde mu Uganda ku kitebe kya Chief of Military Intelligence e Mbuya bakaanyizza nti singa amawanga gano tegakolera wamu, abatujju baakwongera okufuuka ekyonga nókutirimbula bannansi mu mawanga mangi.
Colonel Otsile Benedict Segami akulembeddemu ekibinja kye kitongole ekikessi okuva e South Africa ategezezza nti amawanga gabwe galina okusalawo ekyenkomeredde ku kulwanyisa obutujju buno obutongera kusaasaana.
Omuduumizi we kitongole ekikessi mu Uganda Major General James Birungi mu bubaka bwatisse omuduumizi we kitongole ekirwanyisa obutujju ekya National Counter Terrorism Centre, Brigadier General Dominic Twesigomwe agambye nti amawanga gano galina okusooka okukwatagana mu ngeri gakkirizaamu abantu okusala ensalo za mawanga gano awatali kukugirwa.
Uganda ebadde emaze akabanga ng’erwanagana n’abatujju aba ADF ng’eyambibwako magye ga DRC gokka.
Abatujju ba ADF kigambibwa nti bazze benyigira mu bulumbaganyi obw’enjawulo nga batega bbomu ezifiiriddemu abantu.
Ezaakasembayo zaayo ku Parliamentary Avenue okumpi ne Jubilee house ne ku CPS mu Kampala mu mwaka gwa 2022 abantu abasoba mu 7 nebattibwa.
Mu nnaku ntono eziyise ebitongole by’olwerinda biriko bbomu 6 zebyaateguludde mu bitundu bya Kampala ebyenjawulo, nga kigambibwa nti zaabadde zitegeddwa batujju ba ADF.
Bisakiddwa: Ssebuliba William