Bya Mugerwa Charles
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga awabudde bakulembeze ba parliament abaggya okuli Sipiika Anita Among n’omumyuka we Thomas Tayebwa, okusoosoowaza ensonga eziruma bannansi baleme kukulembeza za bantu kinnoomu.
Abagambye nti eno y’engeri yokka gyebasobola okwebaza n’okujjukira ebirungi by’eyali sipiika wa parliament Jacob Oulanyah, eyava mu bulamu bwensi ennaku ntono eziyise.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga obubaka buno abuwadde abakulu bombi sipiika Anita Among n’omumyuka we Thomas Tayebwa webali, mu nsisinkano gyabaddemu nabo ku parliament.
Anita Among y’abadde omumyuka wa Jacob Oulanyah abadde sipiika,era nga bombi baalondebwa nga 24 may,2021.
Okuva olwo Jacob Oulanyah abadde atawanyizibwa obulwadde,okutuusa nga 20 March,2022 bweyavudde mu bulamu bwensi eno.
Nga 25 march,2022 ababaka ba parliament baatudde nebalonda Anita Among okufuuka sipiika,ng’amyukibwa Thomas Tayebwa.
Bano baalondebwa nga Jacob Oulanyah tanaziikibwa,olwa ssemateeka alambika nti tewandiibadde mulimu gwonna gukolebwa mu parliament, singa entebe ya sipiika ebeera nkalu nga terina sipiika.