Bank of Uganda ewadde Salaam Bank olukusa okutandika okuwola banna Uganda ensimbi ngayesigamye ku nnono z’Obusiraamu.
Akola nga Governor wa Bbanka ya Uganda Micheal Atingi –Ego akwasizza abakulu okuva mu Salaam Bank satifikeeti ebakkirizza okutandika okukakalabya emirimu gyabwe mu Uganda.
Salaam Bank ye banka esoose okuweebwa olukusa okuva mu Bank of Uganda okukola emirimu gya bank z’Obusiraamu mu ggwanga ng’egoberera enkola ya Islamic banking etaggya magoba ku nsimbi wewola.
Atingi agambye nti alina essuubi nti ennongoosereza mu mateeka eziteereddwawo okuwagira emirimu gya bbanka z’Obusiraamu zijja kutuusa bbanka eno ku buwanguzi.
Agamba nti mu bbanga lya Myezi 12 egijja basuubira nti Salaam bank egenda kutandika okutuusa obuweereza buno ku banna Uganda.
Ku lulwe Ssentebe wa Board Salaam Bank, Muhammed Ahmed Ali agambye nti banka yaabwe egenda kuddukanyizibwa mu bujjuvu ku misingi gya Islamic Banking era nga yakuweereza buli muntu.
Bisakiddwa: Betty Zziwa