Ebikumi n’ebikumi by’abakungubazi byeyiye e Lugogo mu Kampala ku kiggwa ky’abenzikiriza y’Abahindu, ewakoleddwa emikolo gy’obuwangwa egy’okwokya omubiri gwa Rajiv Ruparelia Mutabani wa Naggaga Sudir Ruparelia.
Rajiv yafiira mu kabenje ku Entebbe Express mu kiro ekyakeesa nga 03 May,2025.
Emmotoka ye yatomera ebyuma ebyali bissiddwa mu kkubo, n’oluvannyuma nekwata omuliro nafiiramu.
Omukolo gw’okumwokya Rajiv gwetabiddwako sipiika wa Parliament ya Uganda Annitah Annet Among era yeyetisse obubaka bwa President Museveni, yebazizza ba Ruparelia okussa ettofaali ku nkulaakulana ya Uganda nga basiga ensimbi.
Abakungubazi abenjawulo bogedde ku Rajiv ng’omuntu abadde ow’ekisa, aweeredde abaana abatalina mwasirizi, awadde abantu emirimu, saako okuyambako okusitula omuzannyo gw’okuvuga emmotoka mu Uganda.
Rajiv Ruparelia afiiridde ku myaka 35 egy’obukulu.#