Eyali Ssenkulu wa Ssettendekero wa Makerere professor Ezra Suruma asabye government ya Uganda okukozesa ezimu ku nsimbi z’egenda okuggya mu kusima amafuta okutumbula embeera z’abakadde.
Bino aby’ogeredde ku Lugogo UMA Show grounds mu musomo ogutegekeddwa Ministry y’ekikula Ky’abantu wamu n’ekitoongole ki Initiative For Social and Economic Rights ekirwanirira eddembe ly’ebyenfuna ery’abantu abatalina mwasirizi wabula nga essira ku mulundi guno baalitadde ku bakadde.
Ebyava mu kubala abantu byalaga nti ababakadde Bali obukadde 2.3 by’ebitundu 5% ku bungi bw’abantu abali mu ggwanga, wabula nga ebitundu 48% ku bakadde bano baavu luunkupe abatasobola nakwetusaako byetaago bitandikirwako gamba nga Ssabbuuni, Ssukaali, omunnyo amafuta n’ebirala ekintu ekiswaza ennyo eggwanga lino.
Suruma ategeezezza nti amawanga nga Noway nga kw’otadde n’agamu ku masaza ga America gamba nga Alaska gaateekawo ekittavvu mwebasiga ebitundu 20% ku nsimbi eziva mu mafuta g’eggwanga, era nga amagoba agava mu nsimbi zino government g’ezikozesa okutumbula embeera za bakadde bwatyo nategeeza nti ne mu Uganda kisobokera ddala.
Ssenkulu w’ekitongole ki Initiative for Social and Economic Rights (ISER) Angella Kasule Nabwowe ategeezezza nti abakadde okufuna ensimbi z’abwe balina okubeera n’endagamuntu wabula ekikwasa ennaku ate endaga muntu ezo zibafuukidde omuziziko mu kufuna ensimbi z’abwe olw’ensobi ezaakolebwa abakozi b’ekitoongole kya NIRA.
Nabwowe agambye nti bali mu nteeseganya n’abakulu mu kitongole kya NIRA okulaba nga batereeza ensobi ezakolebwa mu kuwandiisa abakadde bano.
Akulira abakadde mu district ya Kayunga Ssenkungu Livingstone akkukkulumidde nnyo governmrnt n’abantu abatwala ensonga z’abakadde mu ngeri yekisaazi.
Bisakiddwa: Ssekajjijja Augustus