President w Uganda Gen. Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni, era nga yaakwatidde NRM bendera ku ntebe ennene ey’obwa president, ajjukizza abantu mu bendobendo lya West Nile, okujjukira emirembe, obugagga n’enkulakulana gavumenti gyakulembera byeereese mu kitundu kino, era naabajjukiza obutamusuulirira mu kalulu ka 2026.
Bino president Museveni abyogeredde mu district ye Nebbi ne Zombo, gyabadde ng’awenja akalulu kookudda mu ntebe y’obwa president ekisanja eky’omusanvu.
President Museveni, anokoddeyo enkulakulana ereteddwa mu kuzimba enguudo, amasomero, okutumbula ebyobulamu, ebyobulimi, amasanyalaze, obutale, okugatta omutindo ku byamaguzi nebirala nti byonna bireteddwa gavumenti ya NRM.
Mukyala w’omukulembeze w’eggwanga, era minister w’ebyenjigiriza, Janet Kataaha Museveni, abasabye okwewala emivuyo, okwesojja mu mawanga n’ekikula kyabwe, okuggyawo ey’obufuzi eby’obukyayi, naasaba abe Zombo ne Nebbi okusigala obumu nekiseera kyokulonda nga kiwedde.
Amyuuka ssentebe wa NRM mu bukiika kkono bwa Uganda, era nnampala wa gavumenti, Denis Hamson Obua, nga naye abadde mu district ye Nebbi ne Zombo atenderezza enkyukakyuka n’ebyobukulembeze president Museveni bwabaleetedde mu kitundu kyabwe.#













