President wa Uganda Gen Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni, asoomozezza abakulembeze baavuganya nabo ku ntebe y’obwa president, okulambika bwebayimiridde ku nteekateeka z’okuwagira nookuyimirizaawo omukago gw’amawanga ga East Africa, n’okusakira banna Uganda obutale mu mawanga amalala.
President Museveni abadde ayogerako ne bannamawulire mu maka gobwa president e Ntungamo, bw’abadde afundikira okuwenja akalulu mu bendobendo lye Kigezi.
Agambye nti banna Uganda beyongedde obungi nga nebyamaguzi biriko okuvuganya okw’amaanyi nga bisaana okufunira akatale akeebweru, okutebenkeza ennyingiza yaabwe.
Agambye nti abakulembeze baavuganya nabo basaanye okulaga bwebayimiridde ku nsonga eno, nebwebagenda okujikwata kuba erimu emiganyulo mingi.
Asabye banna Uganda okuddamu okumwesiga mu kisanja ekyomusanvu ayongere okubasakira, okubafunira obutale, okubaleetera enkulakulana, nokuyambako mu kutereeza eby’obufuzi mu mukago gwa mawanga ga East Africa.
President Yoweri Kaguta Museveni era akakasizza nti Uganda esaana okwongera enkolagana yaayo naamawanga ga Africa amalala, okulaba nti abakulembeze beegatta okutwala ssemazinga mu maaso.
Azeemu okusuubiza abantu mu bendobendo lye Kigezi nti wakwongera okubafunira emirimu ssinga bamulonda, okubazimbira amakolero, enguudo, amasanyalaze, okugonjoola ekizibu ky’ebbeeyi y’amajaani, okwongera ku nsimbi za PDM nebirala.
Olwaleero president Museveni era ssentebe wa NRM, ayolekera bitundu bye Ankole okusaba akalulu nga wakusookera mu district ye Isingiro ne Ntungamo.#













