President wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni alumiriza munnabyabufuzi Rtd. Col. Dr Kiiza Besigye okwekandagga nagaana okulya emmere, nti nekigendererwa eky’okudyekadyeka abantu bamukwatire ekisa, bave ku ky’emisango gya naggomola egimuvunaanibwa.
Museveni asoomozeza abantu abateeka akazito ku government ye nti eyimbule Dr Kiiza Besigye, agambye nti baleme kumala budde.
Agambye nti kyebalina okukola kwekusabirira ebitongole ebikwatibwako okuwozesa Besigye byanguyeeko ensonga ze, eggwanga litegeere emisango government gyemuvunaanira.
Museveni mu kiwandiiko kyafulumizza ekinyonyola ku nsonga za Dr Kiiza Besigye anyonyodde, nti obugonvu bwaliko buvudde ku ye kennyini okugaana okulya emmere mu mbeera y’okwekalakaasa, so ng’alina emisango gya naggomoa gyalina okuwoza.
Museveni anyonyodde nti abasawo ba DR Besigye babadde bamukyaalira era nebamutwalako mu malwaliro g’obwannanyini ye geyeesiga, naagamba nti bwekiba kyetaagisa okufuna obujanjabi obusingako era nakyo government ejjakukikola.
Museveni agambye nti ensonga zokuwozesa Besigye zaandibadde zaatandiika dda, nga n’eggwanga lyandibadde lyategeera dda amazima wabula kkooti ensukulumu yeyavaako ttagali Ono bweyalemesa kkooti y’amagye okumuwozesa.
Okusinziira ku museveni ,Kati ensonga zisigadde eri ebitongole ebikwatibwako okwetikka fayiro z’emisango okuzitwala mu Koooti zabulijjo emisango gitandike okuwulirwa, oba okutereeza Koooti y’amagye etandike okukola emirimu gy’okuwozesa abantu abazizza egyennaggomola.
Wabula wadde guli gutyo, kooti enkulu mu Kampala etaddewo olunaku lw’enkya ku Wednesday nga 19 February,2025, okuwulira emisango egivunaanibwa Dr.Kiiza Besigye.
Gyebuvuddeko Besigye yaleetebwa mu kooti ng’anafuye nnyo, ekyeraliikiriza abantu abamu nebatuuka n’okwoza ku munnye, nebanenya government olw’okumukuumira mu kkomera mu kifo ky’okumuta agende afune obujanjabi obusingawo.
Besigye kooti y’amagye yamuggulako omusango gw’okusangibwa n’emmundu mu ggwanga lya Kenya gyeyakwatibwa ne munne Hajji Obed Kamulegeya, era nga bavunaanibwa n’okutuuza enkiiko ez’enjawulo mu Kenya, Greece ne Switzerland n’ekigendererwa eky’okusekeeterera government ya Uganda.
Wabula kooti ensukkulumu nga 31 January,2025 bweyasala omusango ogwawaabwa Micheal Kabaziguluka, yasalawo nti kooti y’amagye terina buyinza buwozesa bantu ba bulijjo.
Yalagira nti fayiro y’emisango gyonna egyali mu kooti y’amagye egivunaanibwa abantu ba bulijjo gitwalibwe mu kooti za bulijjo zeziba zibawozesa.
Wano president Museveni wasinzidde nanenya kooti ensukkulumu okuwa ensala gy’agamba nti yali tesaanidde, era kwekukissa ku kooti eno, nti yeyavaako okukandaaliriza okuwozesa Besigye ne banne.#