Omulamuzi Augustine Nshiimye Sebuturo yavudde mu bulamu bw’ensi ku Friday nga 03 April,2026, ku myaka 79 egy’obukulu.
Yazaalibwa nga 12 December,1946
Yaweereza mu ssiga eddamuzi ku mitendera egiwerako okuva ku kooti enkulu okutuuka ku kkooti ensukulumu.
Yaliko omubaka wa parliament ow’ekitundu kya Mityana South okumala emyaka 15, era yaliko minister mu government ya president Museveni mu bifo ebitali bimu.
Minister ow’ensonga z’obwa president Milly Babalanda ayise ku kibanja kye ekya X ekimanyiddwanga Twiiter naalagira akakiiko k’eggwanga akateesitessi k’emikolo akali wansi wa ministry ye aka national Organizing committee okukwatagana n’essiga eddamuzi saako family y’omugenzi okutuukiriza ekiragiro kyomukulembeze weggwanga, eky’okuziika eyali omulamuzi Augustine Nshiimye sebuturo mu bitiibwa by’eggwanga.#













