President Museveni abadde mu lukuηaana lwakubye ku kisaawe kya Namayingo Primary School mu district ye Namayingo gyasabidde abaayo okumuyiira akalulu mu kulonda okujja.
Abantu b’ekitundu ekyo bangi bavubi, era abasuubizza wakwongera okutereeza embeera y’abatuuze ng’abatusaako obuweereza obwenjawulo, omuli eby’obulamu, eby’enjigiriza n’obuvubi bwebasinga okufunamu ensimbi.
Abawadde amagezi okwettanira okulunda ebyenyanja nga beyambisa ensimbi eziva mu Parish Development Model n’emyooga.
Abasuubizza n’okubatusaako amazzi amayonjo okuva ku bitundu 72% agaliyo, ebitundu byonna bibunyisibwe amazzi amayonjo.
Omumyuka asooka owa Ssaabaminister wa Uganda Rebecca Alitwala Kadaga asabye abantu be Busoga okulonda president Museveni, nti wakuggusa ebintu ebyenjawulo ebitandikiddwako mu kitundu.













