Ministry ye byengiriza mu gwanga etegezezza nti government ya Uganda tegenda kuddamu kuzimba ssomero lyonna nga teririna nnyumba z’abasomesa nti byebimu kubisinze okutamya abasomesa omulimu gwabwe n’okuzza omutindo gwe byengiriza emabega.
Governmenr okwanja entegeka eno, evuddr ku bakulira ebibiina by’abasomesa mu gwanga abakungaanidde ku kisaawe e Kololo okujaguza olunaku lwabwe mu gwanga, abawaddeyo ekiwandiiko eri omukulembeze w’eggwanga ekirambika embeera y’abasomesa mwebawangaalira.
Bagambye nti abasomesa bangi abakyetaaga okuduukirirwa nga bukyali l, nti kubanga abamu kubannabwe tebalina wadde ensimbi ezipangisa amayumba, nga n’abamu baasalawo okudduka mu mulimu guno.
Ekiwandiiko kino bakitisse Vincent Elong sentebe w’omukago ogutaba ebibiina bya basomesa ba Science mu ggwanga.
Yoweri Kaguta Museveeni ategezezza nti government erina enteekateka okwongeza omusaala eri abasomesa bonna mu gwanga saako abakozi ba government abalala, nti wabula ensimbi eziriwo tezibasobozesa kukikola omulundu gumu.
Agambye nti baasooka n’abasomesesa bga sciences nga kati ekiddako kwekutunula mu nsonga z’abasomesa ba Arts.
President Museveni alagidde abasomesa okusooka okwetereza n’okwekennenya embeera yensi bwetambula okusobola okubangula abaana ebintu ebibayamba, okusinga okusigala ku nteekateka eya bazungu etagenda kugasa ggwanga.
Museven era ategezezza nti mu nteekateeka ey’okutumbula embeera z’abasomesa wakuteeka ensimbi obuwumbu bwa shs 9 mu sacco zabwe mwebagenda okwekulakulanyiza.
Minister we byengiriza mu gwanga Janet Kataha Museven ategezezza nti government yakubaga etteeka Ministry y’ebyenjigiriza mwenayita okulungamya omutindo gwa basomesa bonna mu gwanga .
Mu kiseera kino amasomero ga government okuvakuku primary okutuuka ku matendekero agawaggulu erina abasomesa abasoba mu mitwalo 180,000.#