Ssentebe w’ekibina ki NRM era President wa Uganda, Gen. Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni, agambye nti ekisanja ekijja 2026 – 2031, tagenda kuba na kisa wadde okuttira omuntu yenna ku liiso aneenyigira mu bulyake n’obukenuzi, naabanaakola vvulugu mu enteekateeka za government ezitekebwawo okulakulanya abantu.
President Museveni ategezeza nti banna Uganda bwebamwesiga ne bamwongera obuvunanyizibwa bwokulembera eggwanga lino mu kulonda okuggya 2026, abali b’Enguzi bekaabire.
Gen. Museveni agamba nti abakulembeze abalonddebwa balina kuba bakalabalaba abasooka mu kulwanyisa obulyake nokukakasa nti program za government zitambuzibwa bulungi.

Kyokka president yewunyizza nti ababaka ba President, ne GISO tebalina kyebakola kulonkoma abakozi bonna abekomya ssente z’abantu.
Bino mwami Museveni abyogeredde ku kakiiko ka NRM akebyokulonda ku Kyadondo road mu Kampala, bwabadde agenze okunona empapula eziraga obwagazi okuddamu okukwatira ekibiina kye bendera mu kulonda okuggya 2026, ne ku kifo kya ssentebe w’ekibiina.
Museveni agambye nti ekikyakuumidde amawanga ga Africa e mabega bwebutagatta mutindo ku byamaguzi byabwe, era kino agenda kirwanako mu kisanja kino.

Mwami Museveni avumiridde abazannya ebyobufuzi eby’okwawulayawula mu bantu, nategeeza nti omulamwa gwa NRM gwakugatta bantu nakukyusa embeera zabwe.
Ssentebe w’akakiiko ke byokulonda aka NRM Dr. Tang Odoi bwabadde akwasa Museveni empapula ze amubuulidde nti ekibiina kyeyongedde obugazi era amusabye akomyewo empapula ze’ nga 5 omwezi ogujja asunsulwe mu butongole
Ssabawandisi wa NRM Richard Todwong ategezeza Museveni nti ekibiina kati kirina ba memba obukadde 20 era.bebaseubira okwetaba mu kulonda ba memba babwe ku biffo ebyenjawulo.
Speaker wa Parliament Anita Annet Among asinzidde ku Kitebe Kya NRM neyebaza mwami Museveni olwokuwuliriza eddoboozi lya bannakibina nakkiriza okuddamu okwesimbawo okubakwa⁶tira bannakibina Kya NRM bendera.
Minister wa byamawulire n’okulungamya eggwanga Dr. Chris Baryomunsi n’omumyuka wa ssentebe wa NRM mu Easter Uganda Capt. Mike Mukulu, bagambye nti bakuyambako Museveni mu kisanja ekigya okulwanyisa obuli bwenguzi.#










