President wa.Uganda Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni abikudde ekyaama nti kituufu government ye ,yeyali yakwata bannansi ba Kenya babiri okuli Bob Njagi ne Nicholas Oyoo,abaali babuzibwaawo okumala ennaku 39 nga tebamanyiddwako mayitire.
President Museveni asinzidde mu mukutu gwa government ogwa UBC, naagamba nti ababiri abo, ebitongole bya government ebikkesi byebyaali byabakwata, ng’abalumiliriza nti bakugu nnyo mu by’okuteekateekateeka obwegugungo.
Ababiri abo Bob Njagi ne Nicholas Oyoo babuzibwaawo nga 01 October,2025 mu bitundu bye Busoga, nti bwebaali bava ku lukuηaana lweyesimbyewo ku bwa president bwa Uganda mu kalulu ka 2026 munnaNUP Robert Kyagulanyi Ssentamu olwali Busoga.
Bazeemu okulabika nga 07 November,2025 .
Government ya Uganda ng’eyita mu bitongole byaayo ebyebyokwerinda okuli amaggye ne police yali yegaana eby’okukwata abantu abo era amaggye gaabulira kkooti nti SSI gegabalina
President Museveni mukwogera kwe eri eggwanga ng’asinziira mu bitundu bye Mbale okuyita ku mukutu gwa UBC, agambye nti ebitongole bya gavunent ebikkesi birina obukugu obwekika ekyowaggulu era byebyabakwata.
BannaKenya abo ababiri baaziddwayo ku buttaka e Kenya oluvanyuma lw’ennaku 39 nga tebamanyidwako mayitire.
Nga batuusiddwa e Kenya baalumirizza nti babadde baawambibwa amaggye agakuuma omukulembeze wa Uganda aga SFC era gegabadde gabalina.
Museveni alabudde abateekateeka okweekalakaasa nti balye kamanye, governmnent ye terina gwegenda kuwa mwagaanya ogwo.
Bob Njagi ne Nicholas Oyoo amawulire ge Kenya galaga nti bakibinja ki Free Kenyan Movement ekirwanirizi ky’eddembe ly’obuntu, era ekitera okubeera ekisaale mukuteekateeka obwegugungo mu ggwanga lya Kenya okuwakanya ensonga ezinyigiriza bannakenya.
President Museveni abalumiriza nti bakolagana n’ekibiina ki NUP okuteekateeka obwegugungo mu Uganda, era nti government ye tegenda kubawa mwagaanya.#













