Police yakakwata 30 ku bigambibwa nti bebamu ku benyigidde mukukuba n’okunyagako abantu ebintu byabwe , president Museveni bweyabadde anonye empapula ze ku kakiiko ke byokulonda aka NRM.
Byaliwo ku Saturday nga 28 June,2025 Gen Yoweri Kaguta Museveni bweyali anona empapula ze okuddamu okukwatira ekibiina kye bendera mu kulonda okujja okwa 2026, n’okubeera ssentebe wa NRM mu ggwanga lyonna.
Abavubuka abaali baambadde Tshirts zakyenvu (yellow) eza NRM nga kuliiko n’ekifaananyi kya President Museveni balabwako nga bakuba abantu nokubanyagako buli kyebalina emisana ttuku mu Kampala.
Ebikolwa bino okusiinga byali ku makubo agaliraanye National Theatre, UBC TV ne Kampala road.
Police evumiridde efugyo lino era netegeeza nti 30 bagombedwamu obwalala, era omuyiggo gukyagenda mu maaso okukwata abalala abenyigidde mu kikolwa kyefugyo kino.
Abavubuka bano babadde tebataliza wabigere,wadde abebidduka, era okusinzira ku butambi obwasaasaanidde emitimbagano, bwabalanze nga balumba buli gwebasanga ne bamukuba n’okunyaga byebalina enkola eyakazibwako ‘eggaali”
Omwogezi wa police mu ggwanga Rusooke Kituuma agambye nti bakyanoonya abalala nga bakozesa obutambi camera zabwe zimulengera wala bwezaakutte.
Rusooke ategezeza nti tebasobola kukkiriza enkola bweti kugenda maaso, era bonna abenyigiddemu bakuvunanibwa mu mateeka.
Mu ngeri yemu Kituuma agambye nti abantu abaweerako abakoleddwako obulumbaganyi babaatuukiridde era bagenda mu maaso n’okukuηaanya obujjulizi obunabayamba mu kunoonyereza n’okuvunaana abenyigidde mu bikolwa ebyeffujjo.
Abakwate kuliko 28 basajja n’abakazi 2.
Wabula ekibiina Kya NRM okuyita mwogezi wakyo Emmanuel Ddombo Lumala begaanye abavubuka bano,nga bagamba nti wayinza okubaawo abaabakozesezza okuvumaganya ekibiina kyabwe.#










