Police etonzeewo enkola empya etuumiddwa UPF MOBI egenda okweyambisibwa abantu okukebera ebidduka byebagula, okumanya oba nga tebirina bipapula bya police bigibwanjibwako oba emisango emirala gyonna.
Police egamba nti ebadde efuna okwemulugunya kungi okuva mu bantu abagula ebidduka ebirina obuzibu omuli ne bipapula bya police ebiriko ensimbi ennyingi.
Enkola eno eya UPF MOBI eteekeddwa ku mutimbagano (app), era ng’okugikozesa enyigamu enkola eno ku mutimbagano n’ossaamu ennamba ye mmotoka n’ofuna ebigikwatako.
Akulira ebya computer (IT)mu police Kiyombo Daison asinzidde mu lukungana lwa banamawulire ku police e Naggulu nasaba abavuga ebidduka okukozesa enkola no, basobole okumanya embeera y’ebidduka byebagala okugula, okwewala ebidduka ebiriko emisango.#