Police ye Namutumba ekubye omukka ogubalagala mu bawagizi ba babiri abavuganya ku kifo ky’omubaka we Ssaza lye Busiki e Namutumba, eranga mukanyolagano akabaddeyo bangi balumiziddwa nebaddusibwa mu ddwaliro ng’embeera mbi.
Bino bibadde ku kyalo Bubutya mu gombolola ye Bulange e Namutumba.
Embirany eri wakati w’abawagizi b’omubaka aliyo Paul Akamba namwesimbyeko Joel Waiswa, eranga ne ppiki ssatu ezabawagizi ba Waiswa baziteekedde omuliro nezibengeya.
Abatuuze mu kitundu ekyo basabye police eyongere ku bukuumi mu ssaza lyonna nga omusaayi tegunayongera kuyiika.
Omu kubakulembeze mu gombolola ye Bulange Azaarwa Waiswa avumiridde ekikolwa kino, nasaba abawagizi bakakkane kubanga nakalulu bwekanaggwa, bonna baakusigala ku kyalo kyabwe.
Bisakiddwa: Kirabira Fred












