Police mu bendobendo lye Masaka nga ekolagana nejinaayo eye Kampala batandiise okunonyereza ku nfa ya munna mawulire wa CBS Jimmy Ssekabiito afiiridde mu Kampala nga 27 June,2025.
Police egamba nti batandiise okukungaanya obujulizi ku nfa ya Jimmy Ssekabiito bazuule ekituufu ekimuviirideko okufa
Omwogezi wa Police mu bendobendo lye Masaka Twaha Kasirye agambye nti nga ekitongole kya Police e Masaka abafiridwa munna mawulire omukugu abadde amanyi ky’akola
Omubaka w’e Lwemiyaga mu district ye Ssembabule, Theodore Ssekikubo naye ataankanye enfa ya munnamawulire Jimmy Ssekabiito, agamba nti wandiba nga waliwo eyamusse.
Ssekikubo ayagala wabeewo okunoonyereza okwannamaddala ku nfa ya Ssekabiito ekituufu kizuulwe.
Munnamawulire Ssekabiito afudde mu ngeri etannategeerekeka ku ssaawa nga 11 ng’obudde busaasaàna ku Lubaga Road mu Kampala!
Police ekkirizza ab’oluganda lwe okutwala omulambo gw’omuntu wabwe mu ggwanika lye ddwaliro ekkulu e Mulago okwongera okwekebegyebwa.
Omubiri gw’omugenzi gubadde gukuumibwa ku ddwaliro e Lubaga, gy’abadde addusiddwa ku bigambibwa nti agudde ku kabenje mu bitundu bye Lubaga.
Police esoose kwekenneenya omulambo n’oluvannyuma nebalagira ab’oluganda okumutwala mu ddwaliro e Mulago, okuzuulira ddala ekyamusse.
Henry Lubuuka muganda w’omugenzi ategezeza nti kati balinze alipoota ya police bamanye ekituufu ekise omuntu wabwe
Akulira ekitongole ky’amawulire Jimmy Ssekabiito kwabadde aweerereza amawulire ekya 88.8 CBSFM, asaasidde Obwakabaka, abakozi ku CBS n’aboluganda olw’okufiirwa omuntu abadde mukwano gw’abangi
Jimmy Ssekabiito wakuziikibwa ku biggya bya bajjjajabe e Bukoto Masaka ku Sunday,nga 29 June,2025.#












