Abebyokwerinda mu district y’eKalungu bakutte nebaggalira omuvubuka abadde agambibwa okwefuula omukozi w’ekitongole kya NIRA ng’aggyako abantu ssente e Lwabenge mu district ye Kalungu nti abayambeko okuzza obujja endaga muntu zabwe.
Akwatiddwa ye Lubega Vicent nga mutuuze mu Juma cell mu kibuga Lukaya, bamukwatidde Kiragga e Lwabenge, oluvannyuma lw’okusangibwa nga waliwo omutuuze gw’abadde aggyeeko shs 15000 amujjulize empapula z’okuzza obujja endaga muntu.
Lubega Vicent okukwatibwa kiddiridde abakulembeze mu Lwabenge nga bakulembeddwamu ssentebe w’eggombolola eno David Ssegawa Balemeezi saako Giso wa Lwabenge Kirabira Tonny okutemezebwako abatuuze kwekumukwata, akuumibwa ku police e Lwabenge.
Omubaka wa government e Kalungu Seifu Katabaazi agambye nti omuvubuka ono Lubega bagenda kumutwala mu kkooti aggulibweko omusango, era alabudde ne ba ssentebe b’ebyalo abasusse okuggyako abatuuze ssente mu lukujjukujju.
RDC Seifu Katabaazi mu ngeri y’emu asabye Banna-Kalungu okwewala ebyobufuzi ebirimu okulwanagana saako okukola efujjo.
Bisakiddwa: Nsubuga Muzafaru











