Ekibiina ky’ebyobufuzi ki Peoples Front For Freedom PFF kyagala wateekebwewo akakiiko akali ku mutendera gw’ensi yonna kanoonyereze ku vvulugu eyabadde mu kalulu ka bonna aka 2026.
Abakulembeze ba PFF bagamba nti akakiiko kano kalina okunoonyereza ku bantu abaafiridde mu kalulu,abantu ababiddwako obuwanguzi bwabwe,abantu abaakwatiddwa, nengeri ebitongole ebikuuma ddembe gyebyefuze akalulu kano.
Omukulembeze wa PFF Ssalongo Erias Lukwago agambye nti singa akakiiko kano katondebwawo ensi yakutegeera eby’okulonda bwebitambula.
Lukwago mu ngeri yeemu ayagala wabeewo okunoonyereza ku bibinja by’abavubuka ebyabadde bikuba abantu okwetoloola eggwanga nga tebali mu byambalo bya bitongole bikuuma ddembe, okumanya eyabasiindika n’ebigendererwa byabwe.
Agambye nti mu bitundu ebimu baakolanga n’ogwokugolola obululu nga buli muntu alaba nga n’okutya tebatya
Bano bagala n’okumanya abagenda okusasula ensimbi y’omuwi w’omusolo eyayonoonekera mu buuma obwalina okukozesebwa mu kulonda nebutakola.
Bisakiddwa: Lukenge Sharif













