Ekibiina Kya People’s Front for Freedom mu butongole kitandise okukwata empapula zaabeegwanyiza ebifo ebyenjawulo mu kibiina kino.
Entekateeka Eno egyiddwako akawuuwo ,era nga batandise nokutunda kaadi z’ekibiina eri abo abagala okufuuka ba member.
Bwabadde atongoza entekateeka eno ,sentebe w’akakiiko ke byokulonda mu PFF Micheal Kabaziguluka agambye nti abegwanyiza okukwatira ekibiina balina okubeera ne kaadi ebafuula ba memba abajjuvu.
Agambye nti empapula bakwata ezabegwanyiza obukulembeze okuviira ddala ku byalo okutuuka ku bwa president.
Col kizza Besigye gwebasoose okuwandiisa nga memba we kibiina asoose wadde nga Ali mu nkomyo.










