Munna kibiina ki Peoples Front For Freedom Col Kizza Besigye alabudde ebibiina by’obufuzi ku ludda oluvuganya government ebikyalwanagana nga balwanira bifo nti bano balina okubikomya ngagamba nti bayambako NRM kwenywereza mu buyinza.
Besigye nga asinziira mu komera e Luzira awerezza obubaka obw’eddoboozi, obuzannyiddwa mu kutongoza ekibiina kya PFF mu butongole, omukolo gubadde ku kitebe ky’ekibiina ku Katonga road.
Omukolo gwetabiddwako ebibiina by’obufuzi ebiwerako
Besigye agambye nti entalo mu bibiina by’obufuzi ebivuganya government byonna birina okukimanya nti biri mu komera nga tebisaanye kulwanagana.
Agambye nti buli lwebalwanagana ate banafuya ntekateeka y’akukyuusa bukulembeze bwa ggwanga mu mirembe, era agambye nti tewali agenda kudda munsiko kuleeta nkyukakyuuka bagala yamirembe abantu baleme kuddamu kuyiwa musaayi nga bwegwali mu myaka gye 80.
Besigye mungeri yeemu ajukizza banna byabufuzi okukomya okuwuliriza emboozi ezitekebwawo government mu banna byabufuzi bennyini, nti emboozi zino zezimaze ebbanga nga zibatabula nga abavuganya government nebava ku mulamwa
Besigye asabye ekibiina ekiggya ekya PFF okulwana okukomya ekibba ttaka mu ggwanga,obulyi bw’enguzi,n’okumalawo ekiwamba bantu mu ggwanga abavuganya government.
Omukulembeze w’ekibiina ki Alliance F or National Transformation Gen Mugisha Muntu alabudde banna byabufuzi obutagezaako kuzza ggwanga lino mu bikolwa byakiyeekera, nti kuganga kati ensonga zirina okubeera mu kwogerezeganya,wabula nasaba government ya NRM ekendeeze ku bukambwe obukozesebwa ku bajivuganya
Omukulembeze w’ekibiina ki PFF Ssalongo Erias Lukwago agambye ekibiina kyabwe tekizze kuwakula ntalo wabula kizze kugatta bibiina abibadde betemyetemyemu mu kaseera kano .
Awadde banna kibiina ki PFF amagezi okwesimbawo ku buli kifo ku kaadi y’ekibiina basobole okukyuusa eggwanga.
Ku ttabamiruka ono,Ssalongo Erias Lukwago alondedwa ng’omukulembeze w’ekibiina kino,amyukibwa Lulume Bayiga,Betty Aol,Nicholas Kamara ne Albert Oduman Okello.
Ssabawandiisi w’ekibiina kiro era nga ye mwogezi w’ekibiina ye Ibrahim Ssemujju Nganda,amyukibwa Harold Kaija ne Keneddy Okello.
Balonze n’obukiiko obwenjawulo obutwala ebitundu by’eggwanga ebitali bimu,n’obukiiko obukola ku byobulamu ,ebyenfuna nebyenjigiriza mu kibiina.
Banna byabufuzi bangi abatabye ku mukolo gw’okutongoza ekibiina kino era beyamye okukolagana nakyo okuleeta enkyukakyuka ey’omuggundu mu Uganda.
Bisakiddwa: Lukenge Sharif











