Parliament ya Uganda erangiridde ennaku zomwezi 03 May 2023, wiiki ejja okuddamu okuyisa etteeka erirwanyisa ebikolwa by’omukwano ogw’ebikukujju.
President Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa yagobye etteeka lino era yalizizaayo eri parliament liddemu okwetegerezebwa.
Yanokoddeyo ennyingo eziwerako mu tteeka lino,zeyasabye parliament okuddamu okuzeetegereza.
Muno mulimu ennyingo eyokusatu esaawo ekinonerezo ekyakalabba eri abantu avunaaniddwa okukaka abaana abato omukwano ogw’ebikukujju ,abantu abaliko obulemu nabalala bebalinako obuvunanyizibwa nebabawalaga endwadde enkambwe okuli mukenenya n’endala.
Ekinonerezo kino omukulembeze weggwanga ng’asinziira ku ssabawolereza wa government agamba nti kikontana ne ssemateeka w’eggwanga
Presidet Museveni era yanokolayo ennyingo 14 mu tteeka lino ekakata ku muntu okuwaaba eri abobuyinza omuntu gwateebereza okuba nga yenyigira mumuze ogwo ,ennyingo Eno museveni yalabudde nti yandikozesebwa obubi era yetaaga okusiimulwa mu tteeka lino
Waliwo n’ennyingo endala nnyingi ezanokolwayo mu bbaluwa omukulembeze weggwanga gyeyawandiikira parliament, akakiiko ka parliament akavunaanyizibwa ku mateeka ,kezaatandise okuddamu okwetegereza.
Olukalala lw’ebiteeso parliament byeggya okutunuulira wiiki ejja kulwokubiri, olufulumiziddwa Offiisi ya kalaani wa parliament ,ekiteeso ekyokuddamu okuyisa etteeka lino kye kimu ku bisooka.#