Akakiiko ka parliament akalondoola enkozesa y’ensimbi z’omuwi w’omusolo mu bitongole bya government kaagala eddwaliro ekkulu e Kiruddu likomye okusasuza abalwadde era liggyewo ‘private’ abajaagala bagende mu malwaliro ga private.
Abakulu mu ddwaliro lino ababadde bakuliddwamu senkulu we ddwaliro lino Dr Charles Kabugo babadde balabiseeko mu kakiiko, okuttaanya ku nsimbi ezeyolekera mu Alipoota ya saababalirizi w’ebitabo bya government ey’omwaka gwe byensimbi 2024/25.
Bategeezezza nti bakuηηaanya ssente eziri mu bukadde lwenda zokka mu kusasuza abalwadde okufuna obuweereza obutali bumu.
Ababaka bakunyizza abakulu bannyonnyole ekibaleetera okusasuza abalwadde nga n’obusente bwebabaggyamu bukola ebitundu 3% zokka ku ssente government zeebawa.
Mukwanukula bategeezezza nga bwewaliwo abalwadde ababeera na kasente abataagala kusimba nyiriri okusobola okulaba abakugu amangu.
Kino kyongedde okutabula ababaka nga bagamba nti obuweereza e Kiruddu busaana kubeera bwa bwereere awatali kusasula nnusu neemu, olwo abaagala ebyokusasula bagende mu malwaliro g’obwannannyini.
Ekirala ekyeyolekedde mu kakiiko kano kwekuba nti eddwaliro lino likyalemereddwa okufuna ekyapa ky’ettaka kwebali okuva mu kitongole kya KCCA, ng’oluusi kibalobera okubaako enkulaakulana zebakola.
Ababaka bakuutidde abakulira eddwaliro okufuba okulaba nti ekyapa kino bakifuna sikulwa nga ettaka lino libagibwako ate nerigabibwa eri abalala.#
Bisakiddwa: Nabagereka Edith










