Abakungu okuva mu bank enkulu eya Uganda bibasoberedde mu kakiiko ka parliament akalondoola entambuza y’emirimu mu bitongole bya government, Ababaka bwebabatadde ku nninga banyonyole engeri sente eziri eyo mu buwumbi 68 gyezagyibwa ku account za bank eyo.
Ababaka ku kakiiko kano bewunyizza engeri ensimbi zino bwezabulankanyizibwa nezisindikibwa ku account za kampuni z’abantu ssekinoomu ne African development bank ng’ate zaali zakusasulwa bank yensi yonna.
Omumyuka wa governor wa bank enkulu eya Uganda Micheal Atingi-Ego ategeezezza akakiiko nga nabo bwebaasoberwa nga sente ziwabye, wadde ng’ate ministry y’ebyensimbi yasooka kubalagira basasule sente obukadde bwa dollar 6 nemitwalo 13 eri kampuni ya road way company limited, zebaayisa mu bank ya MUFG eyomu Japan.
Ate sente endala obukadde bwa dollar 8 n’emitwalo 50 basasula kampuni ya MJS international e London .
Agambye nti ng’ebyo biwedde okukolebwa bewuunya ate okulaba nga waali wakayita akaseera katono ate ministry y’ebyensimbi yeemu nebawandiikira ng’ebabuuza oba baali bamaze okusasula sente obukadde bwa dollar 6 n’emitwalo 13 eri world bank, wamu n’obukadde bwa dollar 8 n’emitwalo 50 eri African development bank.
Babategeeza nti sente bali baamala dda okuzisasula eri road way company limited e Japan ne MJS international London, wabula nti ate ministry yeemu nebategeeza nti ekyo bali bakikoze mu bukyamu.
Wabula ababaka okubadde Martin Muzaale owa Buzaaya county ne Muwadda Nkunyinji owa Kyadondo East tebamatidde nabinyonyoddwa, kwekumuteeka ku nninga anyonyole oba bwebakitegeera nti sente bazisasula abantu abakyamu basoboola okuzinunula.
Micheal Atingi-Ego ategeezezza akakiiko nti bageezako okununula sente ezo nebawandiikira ne bank ya MUFG mwebaayisa sente za road way company limited nti naye bank eyo negaana okubayamba, nebategeeza nti abaafuna sente ezo bali balina ebiwandiiko ebigwanidde okuzifuna.
Agambye nti sente zebaali bawadde kampuni ya MJS international London obukadde bwa dollar 8 n’emitwalo 50, zzo basoboola okubaddizaako obukadde bwa dollar 8 n’emitwalo 20 sente enddala emitwalo gya dollar 31 mu 900 tebaasoboola kuzifuna nti zonna zakozesebwa mu mitendeera egyakomyawo sente ezo.
Ssentebbe wa kakiiko kano Medard Lubega Ssegona alagidde avunaanyizibwa ku by’okusindika sente okuva mu bank of Uganda Jacob Opoloti wamu n’abakungu ba ministry y’e byensimbi abaawandiikira nga bank of Uganda okubaako beesasula sente okulabikako mu kakiiko kano nga 18 December,2024 banyonyole ku ngeri emivuyo ejjo gyejajjamu.
Bisakiddwa: Edithie Nabagereka