Parliament eraalise ku lwokusatu nga 06 November,2024 lwenaasalawo oba ng’ebitongole okuli eky’emmwanyi ki Uganda Coffee Development Authority (UCDA) eky’enguudo ki Uganda National Roads Authority (UNRA) ne Uganda Road Fund oba bivaawo oba okusigalawo.
Ensonga eno eteereddwa ku lukalala lw’ebiteeso, parliament by’egenda okukubaganyako ebirowoozo kwolwo, okusinziira ku lukangagga lw’ebiteeso olufulumiziddwa Offiisi ya kalaani wa parliament.
Mu mbalirira y’eggwanga, ey’omwaka 2024/2025 ekitongole ki UNRA kyafuna ensimbi eziri eyo mu trillion 4 okukola enguudo, ate Uganda Road fund kyafuna ensimbi obuwumbi 400 okuddaabiriza n’okulabirira enguudo ku mitendera gyeggwanga egyenjawulo.
Ebitongole okuli UNRA ne Uganda Road fund government eyagala kubiggyawo obuvunanyizibwa ebutwale mu ministry y’ebyentambula, so nga ekitongole ki UCDA, eyagala kukigyawo obuvunanyizibwa bwakyo ebusse mu ministry y’ebyobulimi n’obulunzi.
Ebitongole byombi bisatu okuli UCDA, Uganda road Fund ne UNRA, ennaku eziyise omukulembeze w’eggwanga aze ebiwandiikako ebiwandiiko eby’omuddiringanywa ng’annyonyola ensonga nti bisaanye biveewo nti kubanga binyunyunta eggwanga.#