Minister wa Buganda avunaanyizibwa ku lukiiko , cabinent , abagenyi n’ensonga ezenjawulo mu wofiisi ya Katikkiro Owek Noah Kiyimba asabye government okukendeeza ku miwendo gya internet kwosa n’okujjibunyisa mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo kiyambeko bannansi naddala abavubuka okuganyulwa mu mirimu egyetagisa internet .
Owek Noah Kiyimba abadde attikira abayizi ku ktendekero lya QUANTUM RTF TRAINING INSTITUTE e Namusera mu district ye Wakiso.
Ettendekero lino lyatandikibwawo Hajji Abbu Kawenja omukozi ku Radio ya Ssaabasajja Kabaka eya CBS FM.
Owek. Kiyimba agamba nti ssinga ebbeeyi y’obusaaganda /data ekendeera, n’amasannyalaze negatebenkera mu Uganda ate ku bbeeyi eyawansi, emirimu gyakwongera okugondera bannauganda .
Owek Noah Kiyimba mu ngeri yeemu asabye abavubuka obutakandaalirira kutandika wamu n’okugenda mu bufumbo nga emyaka tejinabagendako kibayambe okwezimba nga bukyali.
Ssentebe wa dustrict ye Wakiso Dr. Matia Lwanga Bwanika asabye government okwongera okuwagira ensonga z’ebyemikono ng’eggya emisolo ku matendekero agatandikawo okugasobozesa okuyamba kubaana b’eggwanga okufuna obukugu obwetaagisa mu mirimu ku bisale ebisoboka.
Hajji Abbu Kawenja ssenkulu w’ettendekero lya RTF agamba nti bannauganda abalemereddwa okutegeera enkozesa y’omutimbagano bandisigalira emabega kubanga ensi edduka misinde.
Bisakiddwa: Tonny Ngabo