Eyali omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda Owek.Nelson Kawalya avudde mu bulamu ɓw’ensi obudde bwebubadde bukya.
Afiiridde mu ddwaliro e Mengo gy’abadde addusiddwa ng’embeera etabuse.
Yazaalibwa 27 September, 1940 era afiiridde ku myaka 84 egy’obukulu.
Mutabani we Ssenteza Victor Kawalya agambye nti nga family nga bakolera wamu n’ekkanisa, Obwakabaka ne Rotary bagenda kutuula okufulumya enteekateeka y’okuziika.
Abadde yakajaguza emyaka 50 mu Bufumbo obutukuvu
Nga enaku z’omwezi 14 December,2024 Owek Nelson Kawalya yakoze omukolo ogw’ebijaguzo eby’emyaka 50 mu bufumbo obutukuvu.
Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II yamuweereza obubaka bweyatuma Omulangira Kintu Wasajja, yamusiima olw’emirimu gy’akoledde Obuganda, n’amwebaza n’okukuuma obufumbo.
Omulabirizi eyawumula, Wilberforce Kityo Luwalira nga yeyakulemberamu okubulira ku mikolo egyo , bweyali abakubya ebirayiro ebyemyaka 50, yebazizza nnyo mukyala we Naava Annet Kawalya olwebyo byakoze ebisobosezza Oweek Kawalya okufuuka omuwereza owenjawulo mu ggwanga lye.
Baafumbiriganya mu mwaka gwa 1974.
Omulabirizi Luwalira yayogera ku Kawalya ng’omuntu eyali omukkakkamu, abeera n’akamwenyumwenyu buli kadde, era abadde omuweereza mu bintu ebyenjawulo ate nga takulembeza kwekkusa yekka.
Aweerezza Obwakabaka bwa Buganda mu biti ebyenjawulo
Minister wa Buganda ow’eby’amawulire Owek.Israel Kazibwe Kitooke agambye nti Owek.Kawalya aweerezza Obuganda mu bifo ebyenjawulo awatali kwebalira.
Yaliko Omukiise mu kibiina ky’olulimi oluganda, minister w’ebyobulamu, Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, era y’abadde omukuza w’omutaka Kalibbala.
Abadde yakatwala omutaka Kalibbala okukyalira bazzukulu b’essiga kya Kalanzi
Omukolo omulala gw’asembyeyo okubeerako, gwali gwa bazzukulu ba Kalibbala mu ssiga lya Kalanzi e Kiryanyonza mu Ggombolola ya mumyuka Kalamba mu ssaza Butambala, Omutaka Kalibbala bweyali akyaliddeko bazzukulu be ab’essiga eryo.
Owek Nelson Kawalya yabakubiriza okukola kyebasobola okukyuusa ekika kyabwe nga batandikawo ebintu byenkulakulana, n’okukulaakulana embuga z’amasiga zonna n’ekika.
Owek.Nelson Kawalya abadde munnaRotary ow’ensonga
Abadde munnarotary ow’amaanyi era nga yeyatandikawo Rotary Club ye Mengo era n’afuba okulaba ng’ebeerawo, kati emyaka egisoba mu 30.
Abadde past District governor wa Rotary.
Owek.Kawalya akubiriza abakulembeze mu biti ebyenjawulo okwagazisa abavubuka okuyingira Rotary, n’obuweereza obwenjawulo.
Abadde omukiise ku lukiiko oluddukanya essomero lya Kampala School for the physically handcapped.#