Ab’ebyokwerinda mu district ezikola ebendobendo lya Karamoja bongedde okusattira, bwebafunyeeyo omusibe abategeezezza nti alina emmundu.
Omusibe ono atanatuukirizibwa mannya, yategeezezza abebyokwerinda nti aliko munne gweyateresezza mmundu , kyokka abebyokwerinda bwebatuuse mu maka omuteeberezebwa okukweekebwa emundu nga tebaliiwo.
Omubaka wa president mu district ye Moroto Hellen Prukol, ategeezezza CBS ey’Obujjajja nti singa bafunayo emmundu emu baakuddamu essuubi lyokuzuula endala,14 ezikyaabuze, nga zatwaalibwa abasibe 219 bwebaatoloka mu kkomera lino kati omweezi gumu n’ennaku ssatu nga tewali kyaali kirabiseko.
Abasibe 30 bebakakwatibwaako bukyanga basibe bano batoloka, songa abalala 12 bebattibwa ab’ebyokwerinda, bwebagaana okwewaayo eri poliisi n’amagye agakola ogwokubanoonya okubazza mu kkomera lyebaamenya.